Amawulire
Maama asudde owa wiiki 2 mu kabuyonjo
Bya Abubaker Kirunda
Ab’obuyinza mu gombolola ye Bulesa mu distulikiti ye Bugiri babakanye nomuyiggo ku mukazi owemyaka 31, agambibwa okusuula omwana we owa wiiki 2 mu kabuyonjo.
Ono mutuuze ku kalo Bulesa nga kigambibwa nri abazze yakazaala, wiiki 2 emabega wabula balinwana bagenze okuwlura ngomwana akabira mu kabuyonjo.
Bano basobodde okutaasa omwana ono, nebamujjayo nga mulamu.
Sulaiman Isabirye agambye nti omukazi ono kalittima olwamaze okusuula omwana mu kabuyonjo, nabulawo.