Amawulire

Lwaki musengula abantu- SSabasumba alumbye KCCA

Ali Mivule

August 9th, 2014

No comments

Dr Kizito Lwanga

Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga avumiridde ekikolwa kya KCCA okusengula abantu okuva mu mayumba gaabwe

Olunwe alusonze ku mayumba agamenyebwa ku luguudo lw’eggaali y’omukka ng’agamba nti kino kyabadde tekyetaagisa

Ssabasumba wandowooza nti abantu bano bandibadde baweebwa obudde obumala okusenguka mu kifo ky’okubagwaako ekiro nebabasenda ng’ebikere.

Ku nsonga y’ebisiyaga, ssabasumba agambye nti bbo nga bannadiini webasibira webali nga tebasobola kukkiriza kuva ku njigiriza ya bitabo ebitukuvu

SSabasumba bino abyogeredde ku mukolo gw’okufulumya aba faaza 22 b’asabye okusigala nga batambulira mu kkubo lya katonda