Amawulire

Lwakataka ali mu kkooti leero

Lwakataka ali mu kkooti leero

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Lwakataka

File Photo: Omuvuuzi we motooka ze mpaka Lwakataka

Kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka  Ponsiano Lwakataka ne banne abalala 2 badda leero mu kkooti ku musango gw’okutta abantu 9 mu disitulikiti ye Rakai.

 

Lwakataka, Fangesi Vincent amanyiddwa enyo nga  Kanyama ne  Emanuel Zinda basuubirwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ye Masaka John Keitirima.

Okuwulira omusango guno kwatandika omwezi oguwedde nga abajulizi bana bebakawa obujulizi.

 

Omuserikale wa poliisi akola ku kunonyeerza  Twaha Semanda, y’alumiriza Kanyama nti yagamba basibe banne nga bweyetaba mu kutta abantu 9 ab’enyumba emu wali e Kyebe nti era y’abba n’essimu y’omu ku bagenzi.

 

Oludda oluwaabi lwategeeza nti nga ennaku z’omwezi 14th January 2013, Lwakataka, Zinda Fangesi nebanaabwe abalala abatanakwatibwa batirimbula omusumba w’abalokole Steven Mugambe n’abenyumbaye bonna mu tawuni ye Kyebe.