Amawulire

Lwakataka akomawo mu kooti leero

Ali Mivule

January 15th, 2015

No comments

Lwakataka

Kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Posiano Lwakataka adda leero mu kkooti mu kkooti enkulu e Masaka okulaba oba anakirizibwa okweyimirirwa kweyasaba wiiki ewedde.

Omulamuzi wa kkooti eno  Margret Oumo Oguli olwaleero asuubirwa okusalawo oba Lwakataka avunanibwa okwetaba mu kutta abantu omwaka oguwedde mu disitulikiti ye Rakai yeyimirirwa oba nedda.

Bannamateeka ba Lwakataka nga bakulembeddwamu  Hassan Kamba wiiki ewedde baasab omuntu waabwe yeyimirirwe kubanga embeera ye ey’ebyobulamu yeralikiriza sso nga tasobola kujanjabibwa mu kkomera.

Lwakataka y’aleeta abantu 4 okumweyimirira okuli ne ssentebe wa Tawuni Kanso wa disitulikiti ye Rakai Moses Ssenyonga, omubaka  Moses Kasibante Dr Deo Kizito Lukyamuzi ne ssengawe Bernadette Nayigga Kalenzi Lwakataka.

Lwakata avunanibwa kwetaba mu kutta abantu 9 ab’enyumba emu mu maka g’omugenzi pastor Steven Mugambe mu January 2013 ku kyaalo Mutagombwa .