Amawulire
Luwalo lwaffe akoze nnyo
Bya Shamim Nateebwa
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu bwakabaka bwa Buganda, Owek Joseph Kawuki akubirizza abantu okumanya obukulu bwamasaza gaabwe, nga bayitimusa obutonde bwensi, obukozi, okunyweza ebyobuwangwa, okuleeta emiti emito embuga, n’okwekkiririzaamu.
Era abasabye bongere okunoonya abantu ba Kabaka yonna gyebali, babasembeze kumpi ne Kabaka, okubaagazisa emirimu gy’obwakabaka.
Owek Joseph Kawuki agambye nti okuva enkola yóluwalo lweyaddamu mu mwaka gwa 2015, ekoze nnyo okukumakuma abantu bakabaka.