Amawulire

Lunaku lwa siriimu- buvunanyizibwa bwo okumutaayiza

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

HIV ribbon

Nga Uganda yegasse ku nsi yonna mu kukuza olunaku lwa siriimu , e Kamuli miranga oluvanyuma lw’abantu 2 ab’enjawulo  okwetta lwakukitegeera nti balina siriimu.

Omu mukyaala bba gweyasuula mu  ddwaliro kwekusalawo okwetta oluvanyuma lw’okwekyawa.

Omulala musajja eyasigula mukyaala wamunne wabula avudde mu mbeera ne yetta oluvanyuma lwa nanyini mukyaala okumuweereza obubaka nga yadde y’asigudde mukyalawe akimanye nti balwadde ba siriimu.

Mungeri yeemu , ekitongole kya poliisi kikyaali mu kibinja ky’abantu abali mu kabi k’okukwatibwa amangu siriimu.

Okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu abaserikale abambala yunifoomu abakwatibwa siriimu bali ku bitundu 7.3% wabula nga ne banamaggye siriimu abakaabya bukoko.

Akulira eby’obulamu mu poliisi Moses Byaruhanga agamba poliisi ekyalina ekizibu ky’abantu abasobola okusembereza abaserikale obujanjabi ku siriimu.

Agamba poliisi terina mutemwa gwansimbi gwakulwanyisa siriimu nga kale bababegera ku mbalirira ya poliisi yonna.