Amawulire

Lunaku lwa ddembe lya bannamawulire

Ali Mivule

May 3rd, 2014

No comments

jurnalist march

Uganda olunaku lwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lwa bannamawulire.

Olunaku luno lwassibwaawo ab’ekibiina ky’amawanga amagatte mu mwaka gwa 1993 okusiima emirimu egikolebwa bannamawulire n’okutumbula eddembe lyaabwe

Bannamawulire olwaleero bakukungaanira ku kibangirizi kya Chogm okuliraana palamenti nga bagenda kukumba okwongera okutuusa edoobozi eri abantu nti eddembe lyaabwe kikulu.

Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire ekya Human Rights network for journalists, Robert Ssempala agamba nti eddembe lya bannamawulire lirinyirirwa abantu ssekinoomu, n’ebitongole bya gavumenti ebikuuma ddembe era nga bino byonna birina okukyuuka.