Amawulire

Lumumba owa NRM ageeyo empapula zo`bwapulezidenti

Lumumba owa NRM ageeyo empapula zo`bwapulezidenti

Bernard Kateregga

August 31st, 2015

No comments

Lumumba nga bamugwa mukafuuba

Lumumba nga bamugwa mukafuuba

Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Lumumba Kasule agiddeyo mukamawe pulezidenti Museveni empapula z’okusunsulibwa ku bwapulezidenti wali ku ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda

Wakwegatta ku lukalala lw’abantu abasoba mu 30 abakagyayo empapula zino okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2016.

Bano kuliko eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi, eyali meeya wa Kampala Al- hajji Nasser Ntege Ssebaggala n’eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya.
Abalala kuliko eyali amyuka ssenkulu w’ettendekero ly’e Makerere Prof Venancious Baryamureba , Abedi Bwanika n’abalala.