Amawulire
Lumumba asekeredde aba FDC
Ssabawandisi w’ekibiina kya NRM Justine Lumumba Kasule asekeredde ab’ekibiina kya FDC kwebyo byekyasazewo mu kwekalakaasa.
Nga ayogerako nebannamawulire , omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim Ssemujju Nganda y’alangiridde nga bwebasazewo buli munnakibiina obutagenda kukola buli lwakuna era n’asaba nebannayuganda bonna abakiririza mu nkola ya demokulasiya okukola kyekimu.
Wabula Lumumba agamba bannayugtanda bino babyeneneye.