Amawulire

Lukwago wakujjibwaako abasirikale

Ali Mivule

December 3rd, 2013

No comments

 Policofficers strangle him

Oluvanyuma lw’okulwanagana wakati w’abawagizi ba Loodi Meeya Erias Lukwago n’abasirikale ba poliisi, ekitongole kya  poliisi kitiisizza  okugyako loodi meeya basajja baayo abamukuuma.

Adumira poliisi mu kampala  n’emirirano Andrew Felix Kaweesi agamba abasirikale ba poliisi bazzenga balumbibwa abawagizi babanabyabufuzi ab’oludda oluvuganya gavumenti ekintu kyebatayinza kugumikiriza.

 

Kati ono aweze okukozesa eryanyi  okuyingira mu lugya lwa loodi meeya singa analemererwa okukoma ku bawagizi be okulumba abasirikale be.

Akawungeezi kajjo poliisi nate yalwanaganye nabawagizi ba Lukwago okukakana nga abantu 2 bakwatiddwa sso nga n’emmotoka ya poliisi eyononeddwa.