Amawulire

Lukwago kyaddaaki ayogedde- Okulonda kukyaamu

Ali Mivule

March 11th, 2014

No comments

Lukwago

Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago kyadaaki avuddemu omwaasi ku kujuza ekifo kye eky’obwaloodi meeya mu kampala.

Lukwago ategezezza nga bweyawandiikidde dda akakiiko k’ebyokuonda nga abalabula ku kabi akali mu kutegeka okulonda kuno era singa tebakuyimiriza wakugenda mu kooti.

Mu bbaluwa gyawaddeko omuwandiisi wa Kooti ne  minister wa Kampala , Lukwago ategezezza nga okulonda kuno bwekuli wabweru w’amateeka era kunyoomola ebiragiro bya kooti.

Nga ayita mu banamateekabe aba Lukwago  and company advocates, agamba Kooti yayisa ekiragiro nga 23  November omwaka oguwedde ekimuzza mu ofiisi kale nga kyetaaga okutekebwamu ekitiibwa.

Akakiiko k’ebyokulonda wiiki ewedde kalangirira nga 17 omwezi ogujja nga olunaku lwokulonda okujuza ekifo ky’obwa loodi meeya.