Amawulire

Lukwago ayogedde kukusalawo kwábabaka ba NRM

Lukwago ayogedde kukusalawo kwábabaka ba NRM

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Munnamateeka w’omu kampala omututumufu eranga ye Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago, agamba nti okusalawo kw’ababaka ba Palamenti abava mu kibiina kya National Resistance Movement obutawagira bbago ly’etteeka lyonna erireetebwa omubaka kubwannannyini mu biseera eby’omu maaso mu kigendereddwamu kutiisa babaka ba palamenti.

Mu lusirika lwa babaka ba NRM olubadde e Kyankwanzi, mu bikulu ebyasalibwawo, ababaka baasalawo okuggyawo obuwagizi bwabwe eri etteeka lyonna erireetebwa omubaka wa palamenti ngómuntu, ne basalawo okuwagira ago gokka agaba galeetebwa gavumenti

Wabula Lukwago mu kwogerako ne Dembe FM, agambye nti okusalawo kuno tekutunuulidde babaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya bokka wabula n’ababaka ba NRM abo abajjumbidde ennyo okuleeta amabbago naddala mu mbeera nga gavumenti eremereddwa okuleeta amateeka agakwata ku ggwanga.

Mungeri yeemu Lukwago ategeezezza nti okusalawo kuno bwe kunaatuuka ku buwanguzi kijja kulaga nti mu ggwanga lino temuli demokulasiya n’obwetwaze bw’ebitongole ekiteeka eggwanga mu matigga.