Amawulire

Lukwago ayagala amalwaliro ga Health center 111 gagibwe mu Kampala

Lukwago ayagala amalwaliro ga Health center 111 gagibwe mu Kampala

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2023

No comments

Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ayagala amalwaliro agali ku omutendera gwa health centre III gajjibwewo naddala mu kibuga Kampala, agatandikirwako gabe ga Health center 1V.

Lukwago agamba nti olw’okuba amalwaliro ago tegalina musawo mukugu asobola kukola ku ndwadde ziluma banna kibuga, talaba nsonga lwaki gatwalibwa ng’amalwaliro agasanye okukola ku bulamu bw’abantu.

Ono wabula awadde gavumenti amagezi okwongera okuteeka ebikozesbwa mu kujjanjaba abantu mu malwaliro agali ku mutednera gwa health centre IV.