Amawulire

Lukwago awera siwakuva ku ky’okulondoola ensimbi bwezikwatibwamu mu KCCA

Lukwago awera siwakuva ku ky’okulondoola ensimbi bwezikwatibwamu mu KCCA

Ivan Ssenabulya

January 21st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, agamba nti agenda kunywerera ku kusaba embalirira kunsimbi zonna eziweebwa ekitongole kya KCCA okukola emirimu yadde nga si kyangu.

Ategeeza Dembe FM nti wadde nga waliwo okugezaako okumuziyiza, tagenda kukoma okutuusa nga waliwo obwerufu eri ssente z’omuwi w’omusolo kungeri gyezikwatibwamu mu kudukanya pulojekiti ezenjawulo mu Kampala.

Lukwago alabudde abantu ssekinnoomu abali emabega w’emivuyo gya ssente mu Kampala Capital City Authority-KCCA okusuubira olutalo olukaluba ennyo olutakoma.

Bino bijjidde mu kiseera nga yaakafuna ebbaluwa okuva ewa Gen Salim Saleh, ng’ayagala amwetondere ku bigambo ebigambibwa okuba nti yabimwogerako bwe kitaba bwe kityo Saleh yagamba nti siwakudamu kuwa Lukwago nsimbi ezimuyamba mu byobufuzibwe.

Wabula Lukwago yasabye abantu obutateeka ku mwoyo bigamba bya Saleh.