Amawulire

Lukwago atutte Minisita wa Kampala mu Kkooti

Lukwago atutte Minisita wa Kampala mu Kkooti

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Loodi Meeya wa Kampala, Elias Lukwago, atutte minister wa Kampala ne yafeesi ya RCC mu kkooti ku bikwekweto ebigenda mu maaso mu kibuga.

Kino kidiridde mu kuntandikwa yomwaka guno minisitule evunanyizibwa kunsonga za Kampala ngeri wamu ne ya RCC okugoba abatembeyi ku nguudo.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku City Hall mu Kampala, Lukwago agambye nti tewali teeka mu kiseera kino likkiriza kugoba batembeyi ku nguudo zómu Kampala

Anyonyodde nti ekyokugoba abasuubuzi wakati mu kwerimbika mu byokutereeza ekibuga kikyamu nga alumiriza nti ebiragiro bino birina gye biva

Kati ayagala kkooti erangirire nti ekikolwa ekyokugoba abasuubuzi kunguudo nábatembeeyi kikyamu

Mungeri yemu Lukwago ayagala kkooti erangirire nti entekateeka ey’okuwandiisa abagoba ba bodaboda nga bagibwako emitwalo 65000 mbu za kubakebera kikolebwa mu bukyamu kuba kanso tekiyisanga.

Agambye nti oluvanyuma lwokubawandiisa minisita ne ya ffeesi ya RCC balina entekateeka eyókusala omuwendo gwa boda okuva mu mitwalo 20 egiri mu kibuga okudda ku 7000