Amawulire

Lukwago asabye abasiramu okusabira abasibe abaggalirwa kunsonga zébyóbufuzi

Lukwago asabye abasiramu okusabira abasibe abaggalirwa kunsonga zébyóbufuzi

Ivan Ssenabulya

April 22nd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago asabye abayisiramu okwetoloola eggwanga okweyambisa ennaku zino ezisigadde ku mwezi omutukuvu ogwa Ramadan okusabira abasibe abali mu makomera kunsonga ze byobufuzi.

Bino yabyogedde kawungezi akayise ku mukolo ogwokusibulula abasiramu ogwatekegeddwa ekitongole ekidukanya ekibuga kampala ki KCCA ku city hall.

Lukwago yategezeza nti gyebuvudeko yakyalirako abasibe okuli Allan Ssewanyana omubaka wa Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North wabula embeera mweyabasanga yali eyungula eziga.

Ono agamba nti omubaka Ssewanyana mulwadde nyo era yetaaga saala

Ababaka bano bakwatibwa mwaka guwedde ku bigambibwa nti bebaali emabega wóbutemu bwe bijambiya obwakolebwa mu kitundu kya greater Masaka omwafiira bannauganda abawera.