Amawulire

Lukwago alumiriza KCCA okuddumuula ensimbi zénguudo

Lukwago alumiriza KCCA okuddumuula ensimbi zénguudo

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye,

Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago asabye Palamenti okunoonyereza ku kunsimbi ezigenda okutokomoka wakati mu kudabiriza nókuzimba enguudo z’omu kampala 31.

Gyebuvuddeko ekitongole kya Kampala capital city Authority kyafuna obukadde bwa dolla nga 288 nga muza wano kekasse nga kamu okuva mu banka ya African Development okuyamba KCCA okuzimba enguudo ezitakka wansi wa 31 okwetoloola ekibuga.

Wabula Lukwago agamba nti abakulu mu KCCA baddumudde ensimbi ku buli luguudo olugenda okukolebwa ekikolwa kyatayinza kusirikira.

Anyonyodde nti enguudo 31 ezigenda okukolebwa zonna wamu zikola Kilomita 69 era buli Kilomita abakulu balaze nti yakuwemmenta obuwumbi bwa sillingi 14 n’obukadde 400.

Lukwago ayagala palamenti enonyereze kunsonga eno ngómuli gwokuzidabiriza tegunatandika

Lukwago up in arms ——Eng/lug

Lukwago era asabye gavumenti okuyisa obukadde bwa sillingi 100 gavumenti z’etegese okugulamu ettaka lya yiika 10 mu Kisenyi okusenguliramu  abasuubuzi b’oku nguudo eziwe KCCA ezikozese okwongera okuzimba obutale obulala