Amawulire
Lukwago alumbye kcca kunsimbi za kasasiro
Bya Prossy Kisakye, Loodi meeya wa Kampala Erias lukwago akunyizza ab’eby’ekikugu mu kitongole kya KCCA, okunyonyola lwaki baluddewo okugula ebimotoka ebiralala ebiyoola kasasiro mu kibuga.
Bino bibadde mu lutuula lwa kanso amakya ga leero, lukwago kubuuza bano webatuuse mu kugula emmotoka empya oluvanyuma lwokukitegeera nti ne nsimbi ezokubigula tezateredwa mu mbalirira yomwaka guno
ono agamba nti ssente zaalina okujja mu mwaka gw’ebyensimbi guno, wabula yewuunya lwaki tezatekebwamu.
Kinajjukirwa nti gavumenti yasuubiza okugula ebimotoka ebiralala 20 okwongera amaanyi mu kawefube w’okulongoosa ekibuga.
Mungeri yemu KCCA,olukiiko lwa bakansala luyozayozezza tiimu ya KCCA FC olw’okuwangula empaka za CECAFA Kagame Cup ez’omwaka guno 2019.
KCCA FC yakubye Azam eya Tanzania 1-0 ku kisaawe kya Nyamirambo stadium mu ggwanga lya Rwanda.
Kati Loodi meeya wa Kampala Erias lukwago, asabye ssenkulu wa KCCA okutegeka ekirabo eky’okusiima abalenzi, olw’okwolesa omutindo mu mpaka ezo.