Amawulire

Lukwago akkirizza okwetonda kwa Mao

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago akkirizza okwetonda kwa ssenkaggale w’ekibiina kya DP  Norbert Mao.

Olunaku olw’eggulo  Mao yetondedde Lukwago olw’ebisongovu bweyamuwerekereza oluvanyuma lwa Lukwago okusimbira ttabamiruka w’ekibiina ekkuuli.

 

Wabula Lukwago agamba  okwetonda kwa Mao kulina okuwerekerezebwako ebikolwa mu kuzza obumu mu kibiina.

 

Agamba Mao kati essira alina kuliteeka ku kugonjoola ensonga ezayanjibwa akakiiko akatekebwawo okutabaganya ekibiina aka Olum.

 

Mungeri yeemu loodi meeya ategezezza nga enteekateeka z’ekisinde kyabwe ekya  Platform for Truth and Justice kyakugenda mu maaso n’enkungaana zaakyo e Mityana nga era bakusaba mu butongole okwetaba mu lusirika lw’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance .