Amawulire

Lukwago Agobye Kidandala

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

 

Deputy lord mayor

Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago agobye Sulaiman Kidandala ku bumyuka bwa loodi meeya.

Bino Lukwago abirangiridde mu lukungaana lw’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti wali ku luguudo lwa Katonga.

Lukwago alumiriza  Kidandala okukukuta ne minisita wa Kampala Frank Tumwebaze wamu ne bakansala abamu okwagala okumutuuza  agire nga akola  nga loodi meeya, Lukwago w’atali.

Wabula abbo bakansala bazze begaana eby’okwagala okutuuza Kidandala mu ntebe ya mukamawe

Gyebuvuddeko Kidandala era y’atabuka ne mukamawe Lukwago olw’obutambi obw’amaloboozi obwafuluma nga kigambibwa nti Kidandala yali ayogera ne ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura ekitaasanyusa Lukwago.

Lukwago ategezezza nti ekimala kimala tayinza kukola namuntu amulyamu lukwe.