Amawulire

Lukwago agamba tewali sente zakuddaabiriza nguudo mu Kampala

Lukwago agamba tewali sente zakuddaabiriza nguudo mu Kampala

Ivan Ssenabulya

April 18th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago, ategeezezza nti ebinnya ebiri mu kibuga Kampala sibyakunogerwa ddagala mu bwangu ng’agamba nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsonga eno tekirina ensimbi ku bidaabiriza.

Ono okwogera bino kidiridde amawulire agayitingana ku mikutu egyémitimbagano nga galaga enguudo zómu kampala bweziwomogose ebitambika awatali afaayo ku zidaabiriza.

Bwabadde ayogerera mu lukung’aana lwa bannamawulire, Lukwago agamba nti yadde nga bannakampala berwanyeko kunguudo embi embeera si yakuteteera kati.

Anyonyodde nti kampuni eziwa KCCA ebikozesebwa okudabiriza nókukola enguudo baagaana okudamu okubibawa olw’amabanja amangi ge babanja KCCA.

Era agamba nti ekitongole kino tekirina nsimbi za kuddaabiriza binnya okutuusa nga bajeti yabwe eyongezeddwa.