Amawulire

Lukwago abasekeredde

Ali Mivule

January 26th, 2016

No comments

Loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago asekeredde abaali balowooza nti eby’obufuzi bye bikomye.

Lukwago agamba abalonzi bakyamulinamu obwesige kubanga tabalyangamu lukwe.

Agamba kuluno kadda mu ntebe y’obwa loodi meeya, wakulwanyisa amateeka gonna amabi gavumenti gesibako abantu.

Ate mu mawulire amalala eyesimbyewo ku tikiti ya DP ayagala okukiikirira abe Nakawa mu palamenti Paul Kenneth Kakande asuubizza okulaba nga obwananyini bw’akatale ke Nakawa budda mu mikono gy’abantu okuva mu gya KCCA.