Amawulire
Lt Gen Andrew Gutti bamulayizza
Bya Ruth Anderah
Lt. Gen Andrew Gutti olwaleero alayiziddwa ku kisanja kye ekyokusattu, nga ssentebbe wa kooti yamagye.
Alayiziddwa omulamuzi Richard Tukacungura ku kitebbe kya kooti eno e Makindye.
Lt Gen Gutti baamwongeza ekisanja nga 21st June 2019 omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni.
Wabula kooti eno ebadde mu luummula okuva mu May womwaka guno.