Amawulire

Lord Mayor Erias Lukwago Wakujulira mu musango gwe Mbale.

Lord Mayor Erias Lukwago Wakujulira mu musango gwe Mbale.

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Oluvanyuma lwa kooti ya ssemateeka okutyemula omusango ogw’okukyusa mu ssemateeka , y e lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago era nga yeyali munamateeka w’ababaka ba parliament omukaaga agamba nti  naye agenda mu kooti ensukulumu ajulire ku  nsala  y’omusango guno.

Mu Kooti eno eyatuula e Mbale , abalamuzi bataano bonna bakiriza nti ababaka ba parliament tebageza nebeyongeza emyaka okuva ku etaano okudda ku musanvu, wabula bwebaatuka ku nsonga yokujjawo ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga 4 nebagiwagira okwali n’amyuka ssabalamuzi we gwanga Owinyi Dollo, kyokka ye justice Keneth Kakuru nakiwakanya.

Kati bwabadde ayogerako ne banamawulire wano ku office ze e kamwokya , Lukwago agambye nti newankubadde bakaanye n’ekyokugaana ababaka okweyongeza emyaka omusanvu naye ekya president okufuga okutuusa lwalifa bakigaanye, era bakujulira ku nsonga eno.

Lukwago agambye nti batadeyo ddda ekiwandiiko ekitegeeza kooti nga bwebagenda okujulira era nga kakano bakyatekateeka nsonga kwebagenda kwesigama.

Bino bigidde mukaseera nga ne Male Mabirizi omu kubaawaba mumusago gwe Mbale naye yadayo dda mu kooti okuwakanya ensala ya kooti eno.