Amawulire

Loodimeeya alondebwa mwezi gujja- Kakiiko akalondesa

Ali Mivule

March 6th, 2014

No comments

Lukwgao sad

Buli kimu kiwedde okufuna loodimeeya w’ekibuga Omuggya.

Akakiiko akalondesa kataddewo olunaku lwa nga 17 omwezi ogujja okulonderako loodimeeya omuggya.

Olunaku luno era kwekugenda okulonderwaako abo abanadda mu bifo by’ababaka abaali aba NRM abana abagobwa mu palamenti

Akulira akakiiko akalondesa, Eng Badru Kiggundu alangiridde nti okuwandiisa abagenda okwesimbawo ku bifo bino bbo bakuwandiisibwa nga 31 omwezi guno ne nga 1st omwezi ogw’okuna

Akakiiko kasabye abantu bonna okukolagana nako okulaba nti okulonda kuno okwemirundi etaano kutambula bulungi.

Ebifo ebikalu kwekuli ekye Lwemiyaga , Ndorwa East, Kampala Central ne Buyaga

Abaali bakiika mu bifo bino bagobwa kooti oluvanyuma lw’ekibiina kyaabwe okubanaabira mu maaso

Ate yye loodimeeya, ba kansala beebagoba oluvanyuma lwa alipoota eyakolebwa ku mivuyo egiri mu KCCA okukakasa nti emirimu gyaali gimulabye.