Amawulire

Loodi Meeya yeyamye okuyambako mu kutumbula eddembe lya bannamawulire

Loodi Meeya yeyamye okuyambako mu kutumbula eddembe lya bannamawulire

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nga bannamawulire bagenda mu maaso nókujaguza olunaku lwabwe olwensi yonna olwa World Press Freedom Day,     Loodi Meeya wa Kampala, Elias Lukwago,atendereza bannamawulire olwókwewaayo námagezi bweborese mu kuwereza eggwanga.

Mu kiwandiiko kyafulumiza Lukwago yeyamye okuyambako mu kukuuma nókutumbula eddembe lya bannamawulire basobole okukola egyabwe nga tewali abakuba ku mukono.

Era asabye bannamawulire okwenganga okusomoozebwa kwebayitamu nga bokola emirimu omuli okukubwa emiggo, okusibwa nókutulugunyizibwa.

Ye ssabapoliisi Martins Okoth Ochola agamba nti wakukolagana ne bibiina bya mawulire omuli ekya editor’s guild, Human Right Network for Journalists, ne media council okulaba nti obukubagano wakati wabwe ne bannamawulire bunogerwa eddagala.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire e Naguru omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti ssabapoliisi ababuulidde nti yadde nga ebigambo bingi ebikyabogerwako wabula wabadewo okukendera kwe misango egyokutulugunya bannamawulire.