Amawulire

Loodi meeya ne Musisi bakontanidde mu kakiiko ka palamenti

Ivan Ssenabulya

November 28th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses

Akakiiko ka palamenti akensonga zobwa presidenti kanenyezza nnyo abakulu mu kitongole kya KCCA, olwobukambwe bwabakwasisa amateeka.

Kino wabula bakitadde ku kwerumaruma wakati wakulira emirimu egyekikugu Jennifer Musisi ne Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago.

Ababiri bano olwaleero balabiseeko mu kakaiiko kano, akakubirizbwa omubaka omukyala owa distrct ye Adjumani Jesca Ababiku  okunyonyola kun kola yabakwasisa amateeka.

 

Lukwago ne munne nankulu bombi babadde besongamu ennywe olwebitatukiridde.

 

Lord Mayor agambye wakyabuzeewo enkola ennungamu eyokuwandiosangamu abakwasisa amateeka, ate Musisi nagamba nti oluuyi olwebyobufuzi mu Kampala, bebavaako obuzibu bwonna, nga bakuma omuliro mu bantu okulumbaganga abakwasisa amateeka.