Amawulire

Liigi y’egwanga eggulawo nga 15 Okitobba

Liigi y’egwanga eggulawo nga 15 Okitobba

Ivan Ssenabulya

October 6th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ebbugumu litandise, nga liigi yegwanga eya Star times Uganda Premier League 2021/22 egenda okutandika nga 15 Okitobba 2021.

Kinajjukirwa nti sizoni ewedde tayaggwa, nga nemipiira egyasembayo gysambibw atemuli bawagizi, wabula ku mulundi guno mu bisaawe, mwakuberamu abawagizi abagere.

Bwabade ayogera ne bannamawulire CEO wa FUFA, Decolas Kizza agambye nti abawagizi 200 bebajja okukirza okuyingira munda mu bisaawe, okusobola okugoberera amateeka nebiragiro byokwetangira ssenyiga omukambwe.

Akulira ba kitunzi mu Star Times abavujirizi ba liigi yegwanga nga ye Ismail Lule akaksizza nti Express FC baakuggulawo ne Arua Hill SC ku Betway Muteesa II Stadium e Wankulukuku.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *