Amawulire

Leero Uganda yegasse kunsi yonna okukuza olunaku lwéddembe lyóbuntu

Leero Uganda yegasse kunsi yonna okukuza olunaku lwéddembe lyóbuntu

Ivan Ssenabulya

December 10th, 2022

No comments

Bya Nalwooga Juliet, Prossy Kisakye, ne Rita Kemigisa,

Uganda olwaleero yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’eddembe ly’obuntu mu nsi yonna wansi w’omulamwa “Ekitiibwa, Eddembe, n’Obwenkanya eri Bonna”.

Okusinziira ku kakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu mu Uganda aka UHRC ebikujjuko by’eggwanga byakubeera mu Disitulikiti y’e wakiso ku kisaawe kyé Nakawuka

Elly Kasirye, Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti disitulikiti y’e Wakiso yalondeddwa kubanga y’esinga okubaamu ebikolwa ebyokutyoboola eddembe ly’obuntu okusinziira ku kubeera okumpi n’ekibuga ekikulu Kampala n’abantu abangi.

Gye buvudeko akakiiko katongoza app bannauganda gwe banayitanga okuloopa okwemulugunya kwabwe mu kutyobolebwa kwe ddembe lyabwe eri akakiiko kano.

Enkola eno etuumiddwa UHRC APP, mu kiseera kino esobola okuwanulibwa okuva ku Google Play eri abo abalina amasimu ga Android ne App Store eri abo abalina IPhones oba IOS software.

Okusinziira ku Dayirekita akulira ebyokunonyereza mu kakiiko kano, Kamadi Byonabye, App eno egenda kwongera okutumbula okugabana amawulire n’okukwatagana mu kiseera ekituufu n’abakwatibwako bonna n’abantu bonna.

ate kyo ekibiina kyobwannakyewa ekya CCEDU kiraze obweralikirivu ku muwendo gwa baana abawala abafumbizibwa mu bitundu bye Karamoja nókufuna embutoo nga tebaneetuuka.

Akulira ekibiina kino, Charity Ahimbisibwe asabye gavumenti okutunulira enyo okutumbula ebyensoma yomwana omuwala okwewala okufumbizibwa nga tebanetuuka.

Ate ye Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Antonia Guterres asabye amawanga agali mu mukago, ebibiina by’obwannakyewa, ab’obwannannyini n’abalala okuteeka eddembe ly’obuntu ku mutima mu kaweefube wokukomya ebikolwa ebinyigiriza eddembe lya balala

Omulanga gwe gujjidde mu kiseera ng’ensi yonna ejjukira olunaku lw’eddembe ly’obuntu olwaleero olukuzibwa buli nga December 10th.