Amawulire

Leero abayisiramu munsi yonna lwebatandise ekisiibo

Leero abayisiramu munsi yonna lwebatandise ekisiibo

Ivan Ssenabulya

April 2nd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abaddu ba Allah abayisiramu munsi yonna leero lwe batandise okusiiba omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan okujjuza empagi eyókuuuna okuzimbidwa obusiramu.

Okusiiba omwezi gwa Ramadhan kukakata ku basiraamu bokka, wabula abasiramu abalina obuzibu okugeza nga abalwadde, abakyala abali munsonga n’embeera endala tebakirizibwa kusiiba.

Omwezi ogwa Ramadhan gwe mwezi ogusinga okuba ogwénkizo mu mywezi gyonna egyóbusiramu, abasiramu mwebatekeddwa okweyisiza obulungi, okwegayirira katonda okusonyiyibwa, okusibulula abatalina busobozi némirimu emirala, era ekisiibo kimala wakati w’ennaku 29 oba 30.

Omusiramu atekeddwa okuleeta nniya yókusiiba omwezi guno, era nga bazukuka mu kiro okulya daaku wakati wéssaawa 9 ne 11 obudde bukya newankubadde nga sikyabuwaze, kyokka akikoze afuna empeera.

Director wa Sharia kasozi Kibuli, Sheikh Abdul Hafiizi Walusimbi, akubiriza abasiramu okwetegekera okusiiba era bazukuke mu kiro balye ddaaku.

Okusiiba omwezi gwa Ramadhan mpagi 4 okuzimbidwa obusiramu nga esooka ye y’okukirizza nti Allah nómubakawe Muhammad Swalalahu-Aleyihi Wassalama, okusaala esswala 5 buli lunaku, okutoola zakah mu maali yo, nókugenda e Mecca okukola Hijja.