Amawulire

Laddu esse abantu 2 e Luuka

Laddu esse abantu 2 e Luuka

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abantu babiri bakubiddwa laddu ne bakalirawo mu disitulikiti ye Luuka district.

Abagenzi bonna batuuze bé Itakaiboru mugombolola yé Waibuga.

Okusinzira ku ssentebe wekyalo kino Charles Baino, bano laddu yabasanze bebase mu kiro ne kuba kunju yabwe.

Abagenzi kuliko omukyala owe myaka 80 nómusajja atemera mu gyobukulu 30.

Poliisi emirambo egigyewo ne gitwalibwa mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa.