Amawulire

Laddu esse 3

Ali Mivule

July 4th, 2017

No comments

Bya Magembe ssabbiiti

Abantu  bana ababadde  bazanya  omuzanyo  gwa Ludo  mu  kabuga ke Kalamba  mu gombolola  ya  Kiganda  eMubende   bakubiddwa  Laddu
bassatu kubo  nebafirawo .

Okusinzira  kuberabideko  nga  enjego  eno  egwawo bategezeezza    nga
Laddu  eno  bwejidde  mu lukubakuba  olubadde  lufuyirira  kwosa
nekibuyaga  owamanyi  olwo  banabwe  abana (4)  abakubiddwa babadde
batudde  wansi  wa  muti nga  bazanya  Ludo .


Omuddumizi  wa  poliisi  eMubende  Byaluhanga  Patrick  akakasizza
okufa  kwa  bantu  abassatu  okuli ; Mawejje  Hakim, Samu  Ssenyonga
ne  Ssekamate  Hakim  ate  nga  Bwete  adusiddwa  mu  ddwaliro
eMubende  nga ali  mu mbeera  mbi.