Amawulire

Kyagulanyi asabye palamenti eyingire munsonza zábawambe

Kyagulanyi asabye palamenti eyingire munsonza zábawambe

Ivan Ssenabulya

March 11th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omubaka wa Kyadondo East mu palamenti era eyavuganya kubwa pulezidenti ku kaada ya NUP Robert Kyagulanyi asabye palamenti eragire abakuuma ddembe okuyimbula bannauganda bonna abawambibwa kunsonga eze byobufuzi.

Mu kwogerako eri palamenti akawungeezi ka leero, Kyagulanyi alaze obwenyamivu olwebikolwa ebyokuwamba abantu nokubatulugunya ebigenda mu maaso mu ggwanga.

Kyagulanyi agambye nti nólunaku lweggulo waliwo abantu 2 okuli Tonny Kiweewa ne Najib Busonga abawambiddwa abakuuma ddembe ababadde mu byambalo byabulijjo.

Wasabidde palamenti okweyambisa obuyinza bwayo abantu bano basobole okufuna eddembe lyabwe.

Ensonga eno sipiika Rebecca Kadaga alagidde elondorebwe ababaka abatuula ku kakiiko akalwanirira eddembe lyobuntu.