Amawulire

Kyadaaki aba NUP bagudewo yafeesi zaabwe empya

Kyadaaki aba NUP bagudewo yafeesi zaabwe empya

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssenkagale wekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulangi asabye bannakibiina okuba obumu lwe bajja okutuuka ku kigendererwa kyabwe.

Okwogera bino asinzidde ku mukolo ogwokugulawo ekitebe kye kibiina kya NUP e Makerere Kavule.

Omukolo guno gwetabiddwako bannabyabufuzi okuli Dr. Kiiza Besigye, eyaliko senkagale wekibiina kya FDC, Loodi meeya wa kampala Erias Lukwago, Eyaliko minisita akwasisa empisa mu gavt ya Museveni Miria Matembe.

Besigye abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno yewunyiza okulaba nti ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kimaze emyaka egiwerera ddala mu buyinza wabula tekirina kitebe.

Ye Kyagulanyi agambye nti ekitebe kino ekigya kyakweyambisibwa okutendeka abakulembeze.