Amawulire

Kooti eragaidde Gashumba bamuddize Paasipoota ye

Ivan Ssenabulya

March 21st, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti ya Buganda  Road eragidde poliisi okuwaayo passporta ya Frank Gashumba asobole okwetaba mu lukungaana lwebyobulambuzi, oluvanyuma lwokukola okusaba kuno.

Ekiragiron kiyisiddwa omulamuzi wa kooti ya Buganda Road James Ereemye Mawanda.

Wabula agobye okusaba kwa Gashumba okumujjako eisango ejimuvunanwa ngagamba nti jirimu okutyoboola eddembe lyobuntu.

Gashumba ne muganda we Innocent Kasumba bavunanibwa emisango 26 egyekuusa ku bufere nokujingirira ebiwandiiko.

Bavunanibwa wamu nomukozi mu kampuni ya MJ Safaris Isma Kiyingi.

Ate Gashumba obwomu era avunanibwa omusango gwokusangibwa nenjaga.

Mungeri yeemu ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita asubirwa okukola ennongoererza mu mpaaba yemisango gya Frank Gashumba ne Kasumba.

Kino kibikuddwa Jonathan Muwaganya omuwaaabi wa gavumenti atuula ku Buganda Road.

Muwaganya asabyebyo akadde ka wiiki bbiri okuvaayo nekyukakuka zino.