Amawulire

Kooti ensukulumu enywezezza ekibonerezo kyamayisa ku Kato Kajubi

Kooti ensukulumu enywezezza ekibonerezo kyamayisa ku Kato Kajubi

Ivan Ssenabulya

November 12th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Abalamuzi ba kooti ensukulumu 5, balamudde nti omusubuzi we Masaka Godfrey Kato Kajubi asibwe mayisa obulamu bwe bwonna mu kkomera, olwokutta omwana omulenzi owemyaka 12.

Mu nnamula esomeddwa omuwandiisi wa kooti eno Harriet Ssali Lukwago, abalamuzi abalamuzi abaklembeddwamu Ssabalamuzi wegwanga Alfonse Owiny-Dollo banywezezza ennamula eyaweebwa omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Mike Chibita.

Banywezezza nekibonerezo ekyamuweebwa nebagamba nti ddala engeri omulamuzi gyeyakwatamu omusango guno, yali ntuufu na bwegendereza.

Bagambye nti Kato Kajubi ddala tagwanidde kudda mu bantu olweneyisa ye eyeobutemu nokweraguza, bweyatemula Joseph Kasirye eyali owemyaka 12 mungeri yokusadaaka.

Bino byaliwo mu Okitobba womwaka gwa 2008.

Abalamuzi ba kooti ensukulumu bagambye nti obujulizi ddala bulaga nti Kajubi yapangisa omusawo wekinnansi Umar Kateregga ne mukyala we Mariam Nabukeera okutta omwana Kasirye, eyali omuyizi ku ssomero lya Kayugi P/S mu gombolola ye Mukungwe e Masaka.

obujulizi obwaletebwa mu kooti enekulu mu maaos gomulamuzi Chibita, bwalaga nti Kajubi yennyini yeyasalako  Kasirye omutwe nebintu byekyama nabitwala okubikozesa mu bizimbe bye, ebiri e

Kampala, Jinja ne Masaka.

abavunaanwa, tebamatira ne nnamula ya kooti enkulu kwekujulira okuyita mu bannamateeka baabwe aba Wameli and Co Advacates.