Amawulire

Kooti enenyezza akakiiko kebyokulonda

Kooti enenyezza akakiiko kebyokulonda

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti ya ssemateeka enenyezza akakiiko kebyokulonda, olwokutondawo ebifo byobukulembeze ebibbya nga tebatunuliidde bugazi bwabitundu nomuwendo gwabalonzi.

Kooti etegezezza nti newankubadde ssemaeeka wegwanga owa 1995 yalagira okutondangawo ebifo bino, batekeddwa okwesigama ku muwendo gwabantu okusinziira ku kubala abantu okwa 2002 ne 2014.

Bagambye nti tekyakolebwa mu mateeka bwebaali batondawo disitulikiti ezisoba mu 100 okwongera ku disitulikiti 39 ezaliwo.

Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu amyuka Ssabalamuzi wegwanga Richard Buteera bagambye nti nebifo byababaka ba palamenti, bitekeddwa okutondebwawo mu maeeka gegamu, waberewo omwenkano okusinziira ku bantu abakirirwa.

Omusango guno gwalamuddwa, nga gwali gwawaabwa Dr Samuel Kamba Baleke, Gerald Lutaaya Sonko ne Faisal Muganda nga bawawabira akakiiko kebyokulonda ne Ssabawolererza wa gavumenti, omwaka gwali gwa 2019.

Baali balumiriza nti akakiiko kebyokulonda ne gavument yennyini yali eremereddwa omulimu gwayo.

Ablamuzi banokoddeyo ebitundu nga Arua, Wakiso ne Kampala ebisngamu abanu abangi mu gwanga, bgamabye nti bisaanye okutunulirwa muneri eyenjawulo naye nabyo biberemu omwenkano mu muwendo gwabantu.