Amawulire

Kooti ekakasizza okulondebwa kwa Muhamadh Nsereko

Kooti ekakasizza okulondebwa kwa Muhamadh Nsereko

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu ekakasizza okulondebwa kwomubaka Mohammed Nsereko ngomubaka wamasekati ga Kampala.

Kooti egobye omusango gwa munna NUP Fred Nyanzi Ssentamu gweyawaaba ngawakanya okulondebwa kwa Nserko.

Omulamuzi Margret Apinyi agambye nti eyawaaba yalemererwa okuwa Nsereko ku mpaaba ye oba teyamusavinga bulungi nga bwekitekeddwa okubeera mu mateeka.

Akakiiko kebyokulonda kekasabye omulamuzi agobe omusango guno, kubanga tewaliiwo bukakafu nti Nyanzi yasavinga Nsereko.

Munnamateeka wakakiikokebyokulonda Eric Sabiiti agambye nti empaaba teyajitusaayo mu nnaku 7 ezamuweebwa.

Nyanzi abadde avunaana Nsereko okwekobaana nakakiiko kebyokulonda okubba obululu, nokumenya amateeka gebyokulonda.

Nsereko yegasse ku mubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya obuwanguzi bwe obwakaksibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *