Amawulire

Kooti ejjulirwamu enywezezza ekibonerezo ku mutemu

Kooti ejjulirwamu enywezezza ekibonerezo ku mutemu

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti ejjulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyemyaka 36 ekyaweebwa omukuumi, olwokutta banne 2 beyali akola nabo, ngoluvanyuma yadduka namasimu gaabwe okwali nensimbi enkalu emitwalo 2.

Aria Angelo, omulamuzi wa kooti enkulu e Nakawa Elizabeth Nahamya yeyamuwa ekibonerezo kino ku misango gyobutemu nokukola obwa kkondo.

Kino kyadirira ye kennyini okukiriza emisango egyali gimuvunanibwa, nti yagizza wabula teyamatira nekibonerezo ekyamuweebwa nti kyasukka obukambwe.

Wabula bweyaddukira mu kooti ejjulirwamu, abalamuzi ababadde bakulembeddwamu Richard Buteera banywezezza ekibonerezo kino nti ddala kimugwanidde.

Oludda oluwaabi lugamba nti emisango yagizza nga 30 May mu mwaka gwa 2011 ku Master Industries e Banda, webaali bakuuma nga yatta Robert Kuchana ne Yuma Mawa nadduka, baamukwatira mu disitulikiti ye Hoima.