Amawulire

Kooti ejjulirwamu ekakasizza Wakayima Musoke

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Abalamuzi ba kooti ejjulirwamu 3 bakakasizza okulondebwa kw’omubaka wa munisipaali ye Nansana, Wakayima Musoke Hannington Nsereko.

Mu nnamula gyebawade, nga bakulembeddwamu omulamuzi Catherine Bamugemereire, bagambye nti eyawaaba omusago ogubadde guwakanya okulondebwa kwa Wakayima, Hamis Walusimbi yagutekayo kikerezi.

Walusimbi yaloopa ngawakanya obuyigirize bwa Wakayima ngagamba nti nebiwandiiko bye tebikwatagana.

Walusimbi teyamatira ne nnamula eyaweebwa kooti enkulu mu Kampala nasalawo okujulira.

Abalamuzi abalala ababadde mu musango guno kuliko omumyuka wa Ssabalamuzi Richard Buteera ne Irene Mulyagonja.