Amawulire

Kooti egenda kulamula omusango gwa Kyabazinga

Kooti egenda kulamula omusango gwa Kyabazinga

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Kooti enkulu e Jinja olwaleero egenda kulamula omusango oguwakanya okutuzibwa kwa Kyabazinga wa Busoga William Nadiope Gabula.

Omusango guno gwawaabwa omulangira we Bulamogi, Edward Columbus Wambuzi mu mwaka gwa 2014, ngagamba nti Nadiope ssi ye mulangira wengoma omutuufu.

Mu mpaaba ye Wambuzi agamba nti Nadiope yalondebwa mu bukyamu.

Omusango guno gugenda kulamulwa olwaleero, wabula oluvanyuma lwa Nadiope okukuza amattikira ge agomulundi ogwomusanvu.