Amawulire

Kkooti yámaggye yegyereeza Gen. Kale Kayihura

Kkooti yámaggye yegyereeza Gen. Kale Kayihura

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti y’amagye etuula e Makindye eggyeyo emisango gyonna egyali gyaggulwa kweyali omudumizi wa poliisi mu ggwanga General Kale Kayihura.

Emisango egibadde gimuvunanibwa kuliko; okulemererwa okukuuma ebikozesebwa mu lutalo, okulemererwa okulabirira abaserikale ba poliisi, n’okuyambako mu kuwamba abantu.

Emisango gino gyonna gimugiddwako akakiiko ka balamuzi abatuula mu kkooti eno nga bakulembedwamu gyaggyiddwawo ku Lwokusatu Brigadier General Freeman Robert Mugabe.

Nga August 24, 2018, Kayihura yalabikira mu kakiiko kano akaakubirizibwa Ssentebe w’ekiseera ekyo, Lt. General Andrew Gutti okwewozaako ku misango. Emabegako yali yakwatibwa okuva mu makaage agasangibwa mu Disitulikiti y’e Lyantonde.

Oludda oluwaabi lwali lutegeezezza nti wakati wa 2010 ne 2018, ku mirundi egy’enjawulo, Kayihura yagaba emmundu eri abantu abatalina lukusa naddala eri ekibiina kyábavuzi ba bodaboda ekya Boda-boda 2010, nga bakulemberwa Abdullah Kitatta, eyasingisibwa emisango nagalibwa mu kkomera e Luzira wabula oluvanyuma lwokumaliriza ekibonerezo kye yayimbulwa.

Kayihura alabiseeko mu kaguli nga ali musuuti nzirugavu, nga tali na yeebazizza Pulezidenti Museveni, mikwano gye, n’abamwagaliza ebirungi olw’okuyimirira naye ebbanga lino lyonna okutuusa lyagibwako emisango