Amawulire

Kkooti yákuwa ensala yaayo mu musango gwábakiiko kéttaka e Wakiso

Kkooti yákuwa ensala yaayo mu musango gwábakiiko kéttaka e Wakiso

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi ayongezaayo okuwa ensala yaayo mu misango egivunaanibwa abakungu bakakiiko k’ettaka aka disitukiti y’e Wakiso.

Kati omulamuzi ataddewo olunaku lwa June 29th 2023 lwasubira okuwa ensala ye.

Abawawaabirwa kuliko Norah Businge awandiisa ebyapa, Andrew Mwanje , Nicholas Wamboga, Monica Katushabe, Japhery Bekalaze ne Doreen Mpumwire  nga bakola ku nsonga zattaka ku distukiti e Wakiso.

Bano baakwatibwa mu 2019 akakiiko aka State House Anti-Corruption Unit bwebakafuna okwemulugunya ku ngeri ensonga z’ettaka gyezikwatibwamu ku disitukiti eyo.

Abawawabirwa bavunaanibwa emisango 17 okuli egyokukozesa obubi yafiisi zabwe,   okufiiriza gavumenti sente eziri mu bukadde 54.

Oludda oluwaabi lugamba nti mu mwaka gwa 2017 ne 2018 abawawabirwa baakola vvulugu owenjawulo mu ofiisi ya minisitule eyettaka e Wakiso ekintu ekyavirako gavumenti okufiirwa obukadde 54.

Olwa leero omulamuzi Moses Nabende lwabadde alina okuwa ensala ye wabula ategezeezza kkooti nti tanamaliriza jiwandiika.