Amawulire

Kkooti eyimiriza Tabamiruka wa FDC ategekebwa Birigwa

Kkooti eyimiriza Tabamiruka wa FDC ategekebwa Birigwa

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omulamuzi wa kkooti enkulu Esther Nambayo afulumizza ekiragiro eky’ekiseera ekiyimiriza olukung’aana lw’abakiise b’ekibiina kya FDC olutegekeddwa ssentebe wékibiina Wasswa Birigwa.

Okusalawo kuno kwabaddewo oluvanyuma lwa batwala omusango mu kkooti okukkiriziganyizza ne ssentebe w’ekibiina kyabwe n’omuwandiisi wékibiina ku ludda olulala.

Okusaba okukulu okubuusabuusa engeri Tabamiruka ono gye yategekeddwamu kutegekeddwa okuwulirwa ku Mmande.

Ate Tabamiruka ategekeddwa kutuuzibwa nga September 19th.

Abatwala omusango mu kkooti kuliko Ashraf Ntale, Jamal Wante ne Malick Ssazi, ssentebe wa FDC e Namutumba, omuwandiisi omukulu e Bugweri n’omubaka.

Bagamba nti olukung’aana olwogerwako lutegekeddwa mu ngeri ey’ekibogwe okuswaza ekibiina kyabwe kuba telwayita mu kigezo kya kugoberera misingi n’amateeka agafuga ebibiina by’obufuzi.

Bano bagamba nti ne kiwandiiko ekyayita tabamiruka ono kyali kimenya mateeka songa ne mu kumutegeka baleka abantu abakulu ebbali mu kibiina ekiraga nti teyayitibwa mu mutima mulungi.