Amawulire

Kkooti ewabudde Mayambala ku musango gwa Kyagulanyi

Kkooti ewabudde Mayambala ku musango gwa Kyagulanyi

Ivan Ssenabulya

February 26th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekiramuzi kiwabudde eyavuganya kubukulembeze bwe ggwanga Eng Willy Mayambala,okuteekayo eokusaba mu butongole okuyita mu bannamateeka okusobola okwediza omusango gwe byokulonda senkagale we kibiina ki NUP Robert Kyagulanyi gweyasudewo.

Mu bbaluwa Mayambala gyeyawandikidde kkooti ensukulumu olunaku lweggulo, yawakanyiza ekya Kyagulanyi okugyayo omusango oguwakanya obuwanguzi bwamunna NRM Yoweri Museveni mu kulonda okwaliwo nga 14th January.

Yasabye Kkooti aweebwe olukusa atwale omusango guno era nasaba alungamizibwe engeri gyagenda okukikola.

Okusinzira ku nnyingo eye 61(2) mutteeka erirungamya ku kulondebwa kwomukulembeze erya Presidential Election Act, abavuganya bakkirizibwa okutwala omusango singa eyaguloopa agusuulawo

Omuwandiisi wa kkooti Harriet Nalukwago Ssali awadde amagezi Mayambala okweyambisa bannamateeka ateekeyo okusaba kwe kunsonga eno mu butongole

Mayambala nga yeyasiba ekira kubavuganya kubwa pulezidenti bweyafuna obululu 15,014 yasooka kukkiriziganya ne byava mu kulonda nti Museveni ye yawangula.