Amawulire

Kkooti etadewo ennaku okuwulira okusaba wábawagizi ba NUP 32

Kkooti etadewo ennaku okuwulira okusaba wábawagizi ba NUP 32

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ya maggye e Makindye etadewo ennaku zomwezi nga September 11th 2022 okulaba oba eneyimbula ku kakalu abawagizi be kibiina kya NUP 32 abagalibwa mu komera lwakusangibwa ne bintu bya maggye.

Bano 32 olwaleero balabiseeko mu maaso ga ssentebe wa kkooti eno Brigadier Gen Robert Freeman Mugabe eyawulidde okusaba kwabwe nga baagala bayimbulwe ku kakalu ka kkooti nga balindirira okuwozesebwa.

Abavubuka bano bavunaanibwa omusango gw’okusangibwa n’amasasi n’ebintu ebitulika mu ngeri emenya amateeka.

Ekibinja kino ekikulemberwa Yasin Ssekitoleko kigambibwa okuzza omusango guno wakati wa November wa 2020 ne May 2021 mu bitundu okuli Jinja, Mbale, Kireka, Nakulabye, Kawempe, Natete ne Kampala.