Amawulire

Kkooti esazzizaamu ekibaluwa kyeyali yateeka ku Besigye

Kkooti esazzizaamu ekibaluwa kyeyali yateeka ku Besigye

Ivan Ssenabulya

August 25th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kooti yokuluguudo Buganda esazizaamu ekibaluwa kibakuntumye kyeyali yasa kweyali senkagale wekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye oluvanyuma lwokulemererwa okulabikako mu kooti eno omulundi ogwokuna kumisango ejjokuleetawo akajagalalo mu bantu ne munne Samuel Lubega Mukaaku.

Omulamuzi Asuman Muhumuza yagye ku Besigye ekibaluwa ekiragira okumukwata webamulabirako oluvannyuma lw’omukulu ono okweleeta mukooti olunaku olwaleero.

Mu mwezi ogw’omusanvu kkooti yalagira poliisi okukwata Dr Kiiza Besigye emuleete mu kaguli olunaku olwaleero nga 25 ogw’omunaana okwongera okumanya omusango gwe wegutuuse

Besigye ne Mukaaku bavunanibwa ogwokukukuma omulirio mu bantu bekalakaase olw’ebeeyi y’ebintu eyali yekanamye enyo mu ggwanga

Bakwatibwa 14th june 2022 mu Kikuubo ku Shawurayako mu kibuga Kampala.