Amawulire

Kkooti eragidde Muleya okwewozaako

Kkooti eragidde Muleya okwewozaako

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti yo ku luguudo Buganda wano mu Kampala eragidde eyalikulira kampuni y’ekitongole ky’ennyonyi y’eggwanga ekya Uganda Airlines Cornwell Muleya okwewozaako ku bigambibwa nti yagyemera ebilagiro bya Kaliisoliiso wa Gavumenti ebyali bimwetaagisa okweyanjula gyebali yennyoleko kubigambibwa nti eriko engeri gyeyakozesaamu offisi ye obubi.

Bino byaliwo mu mweezi gw’okutaano omwaka guno nga kigambibwa nti Muleya yali akozesezza bubi sente za gavumenti gattako n’okuyisa olugaayu mu nkola eyali egobelerwa mu kuwandiisa abakozi ab’ekitongole ekyo.

Wabula kigambibwa nti Muleya bino byonna yagaana okubisaamu ekitiibwa olw’ensonga yye mwenyini zeyali yemanyidde.

Omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango guno Asuman Muhumuza okuwa ensalwo ye asoose kukkanya n’omukungu okuva mu offisi ya kaliisoliiso Rogers Kinobe, bwategeezezza nga bweyafuba okukakasa nti Muleya yalimu munda mu gwanga mu budde webamuweera ekibaluwa kibakuntumye ku lunaku lwa nga 23/05/2022 webamuweera ekibaluwa.