Amawulire

Kkooti eragidde Gavt okwekenenya ekiragiro ekyayimiriza ekibiina kya Chapter four

Kkooti eragidde Gavt okwekenenya ekiragiro ekyayimiriza ekibiina kya Chapter four

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omulamuzi wa kooti enkulu Musa Ssekaana alamudde nti kyali kikyamu  okuyimiriza ekitongole kya Chapter Four Uganda okukola emirimu, ekiragiro ekyava mu National Bureau for Non-Governmental Organizations ekivunanyizibwa ku mirimu gyebitongole nakyewa.

Omulamuzi agambye nti kyali kikyamu kubanga okubayimiriza awataali kuwa bbanaga eggere, kyandibadde kigenderera kukola kunonyereza okwanamaddala wakiri mu mwezi gumu.

Chapter Four Uganda baddukira mu kooti enkulu mu Kampala nga bagala esazeemu ekirairo kya gavumenti ya Uganda.

Omulamuzi awadde aba Bureau omwezi gumu okuwuliriza ensonga zekitongole kino.

Aba NGO Bureau, zaali ennaku zomwezi 18 August mu 2021 nebalagira Chapter Four Uganda okuyimiriza, wamu nebitongole ebirala 53 nga babanenya obutagoberera mateeka.

Baayita mu bannamateeka ba AF Mpanga and Company Advocates okuddukira mu kooti okwekubira enduulu.