Amawulire

Kkooti eragidde Dr. Kiiza Besigye addizibwe emotokaye

Kkooti eragidde Dr. Kiiza Besigye addizibwe emotokaye

Ivan Ssenabulya

October 31st, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ya buganda road eragidde emotoka ya Dr Kiiza Besigye eyamujjibwako mu biseera mweyekalakasiza olw’emiwendo gy’ebitundu egyaali gyeyongedde mu ggwanga emuddizibwe.

Bino byonna byaliwo mu mweezi gw’omukaaga, bweyasikibwa netwaibwa ku Poliisi ya CPS mu Kampala.

Wabula Kkooti eyagala motoka eno ekwasibwe Obed Kamulegeya, kuba ebiwandiiko ebikwata ku motoka eno Land Cruiser namba UAK 773K byonna biri mu mannya ge.

Bino byaliwo nga 14 June  mu bitundu bya Mini- Price mu massekati g’ekibuga, Dr Besigye ng’ali ne Lubega Mukaaku bwebaali mukwekalakaasa nga nga abawakanya ebbeeyi y’ebintu eyali yekanamye.